BAMBI! Omukyala asse bba lwa kulemwa kumutuusa ku ntikko mu kaboozi, amuwadde obutwa obukambwe

BAMBI! Omukyala asse bba lwa kulemwa kumutuusa ku ntikko mu kaboozi, amuwadde obutwa obukambwe

Poliisi y’e Rukungiri ekutte omukyala ku by’okutta bba, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.

Musimenta Christine myaka 23 nga mutuuze ku kyalo Garuka mu ggombolola y’e Bwambara mu disitulikiti y’e Rukungiri yaakwatiddwa ku by’okutta bba Mutareba Jackson myaka 52.

Okusinzira ku ssentebbe w’ekyalo Twebaze Wilson, ssemaka Mutareba kati omugenzi abadde alina obutakaanya ne mukyala we Musimenta, omuli omukyala okufuna omusajja omulala Arinaitwe Ivan nga yekka gw’asanyusa mu nsonga z’omu kisenge kyokka olumugambako nga yefuula omukambwe.

Mungeri y’emu omukyala abadde yatiisatiisa dda okutta bba kuba asukkiridde okumulemerako ate nga takyamalako bulungi mu kiseera ky’okusinda omukwano olw’emyaka.

Omusajja abadde asinga omukyala emyaka 30 nga yekwasa ebirwadde nga bagenze mu nsonga z’omu kisenge era kigambibwa y’emu ku nsonga lwaki omukyala abadde yafunayo omulenzi omuto.

Mutareba yasangiddwa ng’afiiridde emanju w’ennyumba ng’avaamu ebyovu mu kamwa ssaako n’okusesema, abatuuze kwekutegeeza nti afudde butwa.

Amangu ddala Poliisi yayitiddwa, era omulambo  gwatwaliddwa mu ddwaaliro erya Rwakabengo health center 3 okwekebejjebwa.

Elly Maate omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, agambye nti omukyala Musimenta akwattiddwa ku misango gy’okutta bba, ayambeko Poliisi mu kunoonyereza.

The post BAMBI! Omukyala asse bba lwa kulemwa kumutuusa ku ntikko mu kaboozi, amuwadde obutwa obukambwe appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "BAMBI! Omukyala asse bba lwa kulemwa kumutuusa ku ntikko mu kaboozi, amuwadde obutwa obukambwe"

Post a Comment