Zari akuddalidde abakyala n’abawala, alaze lwaki abasajja bayayaana ku myaka gye okugikwatako n’okugikubako, abikudde ekyama

Zari akuddalidde abakyala n’abawala, alaze lwaki abasajja bayayaana ku myaka gye okugikwatako n’okugikubako, abikudde ekyama

Omukyala Zari Hassan alaze kwaki bangi ku basajja mu Africa bayayaana okugikwatako n’okugikubako wadde mukyala akuliridde mu myaka.
Zari alina abaana bataano (5) ku myaka gye 39 kyokka mu kiseera kino talina musajja amanyikiddwa oluvanyuma lw’okusuulawo eyali bba omuyimbi Diamond Platnumz.

Zari y’omu ku bakyala abakola emirimu egy’enjawulo okunoonya ssente okulabirira abaana ssaako naye okwebezaawo, okwekolako era ali mu mbeera nungi.

Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okutabukira abawala n’abakyala abasukkiridde okulaga nti bali mu mbeera nungi omuli okulaga ebintu ebyebeeyi, okukwata ebintu omuli ensawo nga za bbeeyi, bali mu Hotero nga tebalina mirimu gimanyiddwa.

Mu nsi yonna, abasajja baagala abakyala abali mu mbeera enungi nga balina emirimu, balina ku ssente era y’emu ku nsonga lwaki Zari ku myaka gye, akyavuganya abawala ku basajja kuba alabika bulungi nnyo ate alina ku ssente.

The post Zari akuddalidde abakyala n’abawala, alaze lwaki abasajja bayayaana ku myaka gye okugikwatako n’okugikubako, abikudde ekyama appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Zari akuddalidde abakyala n’abawala, alaze lwaki abasajja bayayaana ku myaka gye okugikwatako n’okugikubako, abikudde ekyama"

Post a Comment