Tanasha yetoonze ku bya Platnumz, akulukuse amaziga bw’ajjukidde omukwano gwa bba, alangiridde ekiddako ku famire ya Dangote
Kyaddaki Tanasha Donna Oketch yetondedde abawagizi be ku by’okwawukana ne bba omuyimbi Diamond Platnumz okuva mu ggwanga erya Tanzania.
Tanasha abadde mu laavu ne Platnumz okuva 2018 oluvanyuma lwa Zari Hassan okunoba era amuzaalidde omwana omu nga mulenzi.
Ku lunnaku Olwokusatu, Tanasha yafulumizza ekiwandiiko okulaga ensi yonna lwaki ayawukanye ne Platnumz wadde musajja alina ssente.
Ezimu ku nsonga zeyawadde, yagambye nti Platnumz musajja mwenzi nnyo, tawa bakyala kitiibwa era yejjusizza olunnaku lwe yakirizza okuba mukwano naye.
Wabula asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okuddamu okutegeeza Platnumz nti omukwano wakati waabwe gwaweddewo kuba teri kitakoma. Mungeri y’emu asiibudde famire ya Dangote n’okwetondera famire ye ne mikwano gwe olw’obutawangala mu bufumbo bwa Platnumz “It’s over between us, there is nothing long that has no END! Goodbye DANGOTE Family. To my in-laws, both family and online ones, sorry, it has failed!”
Ebigambo bya Tanasha biraga nti ali mu maziga kuba yali tasuubira nti ayinza okwawukana ne Platnumz.
The post Tanasha yetoonze ku bya Platnumz, akulukuse amaziga bw’ajjukidde omukwano gwa bba, alangiridde ekiddako ku famire ya Dangote appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Tanasha yetoonze ku bya Platnumz, akulukuse amaziga bw’ajjukidde omukwano gwa bba, alangiridde ekiddako ku famire ya Dangote"
Post a Comment