Zari asinga Tanasha ebisoko bya laavu n’okuwa omusajja essannyu mu kaboozi, wuuno mukwano gwa Platnumz abikudde ebyama, aleese bwiino yenna

Zari asinga Tanasha ebisoko bya laavu n’okuwa omusajja essannyu mu kaboozi, wuuno mukwano gwa Platnumz abikudde ebyama, aleese bwiino yenna

Kyaddaki mukwano gw’omuyimbi Diamond Platnumz awadde ezimu ku nsonga lwaki Zari Hassan yali mukyala mulungi nnyo mu bufumbo okusinga Tanasha Donna.

Sabiti ewedde, Tanasha yavudde okutegeeza ensi yonna nti omukwano wakati we ne Platnumz gwaweddewo era mu kiseera kino buli omu ali bibye.

Tanasha yagambye nti Platnumz y’omu ku basajja mu East Africa abasinga obwenzi, tamanyi ky’ayagala ate tawa bakyala kitiibwa.

Wabula omu ku mikwano gya Platnumz mu ggwanga erya Tanzania okuva mu kibiina kya Usafi Records agaanye okwatuukiriza erinnya lye atuwadde ezimu ku nsonga lwaki Zari yali mukyala wanjawulo ku Tanasha.

Agambye nti Platnumz yazaala mu Zari abaana babiri (2), ekiraga nti yali mukyala wanjawulo nnyo mu nsonga z’omu kisenge okusinga Tanasha era y’emu ku nsonga lwaki Platnumz yawangaala naye.

Mungeri y’emu agambye nti Zari wadde yali mukyala mukulu okusinga ku Platnumz, yali awa abantu ekitiibwa, yali awa bba ekitiibwa ssaako n’abakozi be kyokka Tanasha abadde alowooza nti muwala mulungi nga ayisaamu abantu amaaso.

Mukwano gwa Platnumz era agamba nti Tanasha alaze nti talina magezi kuba okuvaayo ku Face Book okulaga engeri gye wasisinkana Platnumz n’okumuvuma aswadde nnyo kuba oli taata wa mwana we.
Ajjukizza abantu nti Zari bwe yali asuulawo Platnumz teyavaayo kwogera kigambo kyesittaza wadde okumuyisaamu amaaso kuba yakitegeera nti oli taata w’abaana be.

The post Zari asinga Tanasha ebisoko bya laavu n’okuwa omusajja essannyu mu kaboozi, wuuno mukwano gwa Platnumz abikudde ebyama, aleese bwiino yenna appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Zari asinga Tanasha ebisoko bya laavu n’okuwa omusajja essannyu mu kaboozi, wuuno mukwano gwa Platnumz abikudde ebyama, aleese bwiino yenna"

Post a Comment