VIDIYO! Omuvubuka abadde alumirizza nti mwana w’omugenzi Ivan Ssemwagwa akiguddeko, ‘DNA’ ezudde amazima, aba famire balidde obuwuka
Kyaddaki famire y’omugenzi Ivan Ssemwanga efunye ebyavudde mu endaga butonde (DNA) era biraga nti omuvubuka Rashid Kawere omuvuzi wa bbodabooda si mwana wa mugenzi.
Kinnajjukirwa nti oluvanyuma lwa Ssemwanga okufa, Kawere yavaayo naagamba nti y’omu ku baana b’omugenzi era naye alina okuweebwa ku by’obugagga.
Wabula aba famire bavaayo okuwakanya ekya Kawere okuba omwana wa Ssemwanga nga bagamba nti ‘Okufanagana si luganda’ era balina okumutwala mu kyuma, abasawo bamwekebejje DNA okumalawo okubusabuusa.
Aba famire webaali mu lumbe lw’omugenzi, okutuuza Pinto Ssemwanga, mutabani wa Zari Hassan omukulu ng’omusika w’omugenzi, bakiriziganya okutwala Kawere ku DNA.
Ebivudde mu ddwaaliro, biraga nti Kawere tabangako mwana wa Ssemwanga era tewali kibagatta.
Vidiyo
The post VIDIYO! Omuvubuka abadde alumirizza nti mwana w’omugenzi Ivan Ssemwagwa akiguddeko, ‘DNA’ ezudde amazima, aba famire balidde obuwuka appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "VIDIYO! Omuvubuka abadde alumirizza nti mwana w’omugenzi Ivan Ssemwagwa akiguddeko, ‘DNA’ ezudde amazima, aba famire balidde obuwuka"
Post a Comment