Omusajja asse mukyala we lwa waaya kusigala ng’ewankawanka buli kiro, amuttidde mu kiyigo ku myaka 25

Omusajja asse mukyala we lwa waaya kusigala ng’ewankawanka buli kiro, amuttidde mu kiyigo ku myaka 25

Poliisi y’e Matugga ekutte omusajja ku by’okutta mukyala we, nga yamutuze okutuusa lwe yamusse.

Haruna Lukyamuzi myaka 47 nga mutuuze ku kyalo Buwambo mu disitulikiti y’e Wakiso yakwattiddwa ku by’okutta kabiite we Prossy Namugoya myaka 25, ekiro ky’olunnaku olwa Ssande.

Hussein Kato akulira ebyokwerinda ku kitundu agambye nti Ssemaka Lukyamuzi yafunye obutakaanya ne mukyala we nga baakava mu bbaala ekiro okunywamu era kigambibwa yamuyingiza mu kiyigo, namutuga okukakana ng’amusse.

Kato agamba nti Lukyamuzi yasse mukyala we Namugoya ng’amulumiriza obwenzi nti omukyala alina abasajja abalala ng’emu ku nsonga lwaki abadde amulumya mu nsonga z’omu kisenge wabula ku Poliisi, Lukyamuzi yegaanye byonna ebimuvunaaniddwa eby’okutta mukyala we.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, Lukyamuzi akuumibwa ku Poliisi y’e Matugga ku misango gy’obutemu era okunoonmyereza ku by’okutta omukyala kutandikiddewo mbagirawo.

Eddoboozi lya Onyango

The post Omusajja asse mukyala we lwa waaya kusigala ng’ewankawanka buli kiro, amuttidde mu kiyigo ku myaka 25 appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Omusajja asse mukyala we lwa waaya kusigala ng’ewankawanka buli kiro, amuttidde mu kiyigo ku myaka 25"

Post a Comment