Ssemaka yesse n’aleka ekikangabwa ku kyalo, yetugidde ku muti gw’omuyembe

Ssemaka yesse n’aleka ekikangabwa ku kyalo, yetugidde ku muti gw’omuyembe

Poliisi y’e Rukungiri atandiise okunoonyereza ku kyaviiriddeko ssemaka okwetta, ku kyalo Kasharara mu ggombolola y’e Ibanda.

Omulambo gwa Mahengyeka Siliverio myaka 65 gwasangiddwa nga gulengejja ku muti gw’omuyembe okumpi n’amakaage nga gwalabiddwa mutabani we Turyatunga Charles.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, Omugenzi yasobodde okutegeeza ku mukyala we nti agenda kwetta, ekyawuninkirizza famire.

Poliisi egamba nti omukyala yasobodde okutuuza bba okumusaba okukyusa endowooza ye, kuba tewali nsonga yonna eyinza kumusindikiriza kwetta.

Wabula nga wayise essaawa mbale, ssemaka Siliverio yasangiddwa nga yetugidde ku muti.

Maate agamba nti omulambo gwaweereddwa ab’enganda okuziikibwa nga Poliisi bwenoonyereza ekyavuddeko okwetta.

The post Ssemaka yesse n’aleka ekikangabwa ku kyalo, yetugidde ku muti gw’omuyembe appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Ssemaka yesse n’aleka ekikangabwa ku kyalo, yetugidde ku muti gw’omuyembe"

Post a Comment