Museveni agumizza bannayuganda ku nsonga y’ebyokwerinda mu nnaku zino enkulu, abaagalizza omwaka 2020

Museveni agumizza bannayuganda ku nsonga y’ebyokwerinda mu nnaku zino enkulu, abaagalizza omwaka 2020

Ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni agumizza eggwanga ku nsonga y’ebyokwerinda mu kiseera nga bannansi, bajjaguza ennaku enkulu.

Museveni bw’abadde ayagaliza bannayuganda Amazaalibwa ga Kristo amalungi n’omwaka omuggya ogwa 2020 ogujjudde ebirungi, agambye nti ebitongole ebikuuma ddembe nga bikulembeddwamu Poliisi bikwataganye, okunywezza eby’okwerinda n’okutangira omuntu yenna, ayinza okwenyigira mu fujjo.

Mungeri y’emu alabudde bannayuganda buli omu okuba mbega wa munne ku nsonga y’ebyokwerinda.

Museveni era agambye nti Uganda bingi byetuseeko mu 2019 ebigenda okuyamba eggwanga ssaako n’ebyo, ebitunuuliddwa omwaka ogujja ogwa 2020.

The post Museveni agumizza bannayuganda ku nsonga y’ebyokwerinda mu nnaku zino enkulu, abaagalizza omwaka 2020 appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Museveni agumizza bannayuganda ku nsonga y’ebyokwerinda mu nnaku zino enkulu, abaagalizza omwaka 2020"

Post a Comment