Abantu 2 batwaliddwa mu ddwaaliro nga bataawa lwa kuvuganya mu kunywa walagi, empaka zibalemye okuwangula

Abantu 2 batwaliddwa mu ddwaaliro nga bataawa lwa kuvuganya mu kunywa walagi, empaka zibalemye okuwangula

Abantu babiri (2)  baddusiddwa mu ddwaaliro lye Tororo nga bali mu mbeera mbi oluvanyuma lw’okuvuganya mu mpaka z’okunywa walagi, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.

Paul Mwereza myaka 35 nga mutuuze ku kyalo Magoro “B” ne mukwano gwe Paul Onyango myaka 33 nga naye mutuuze ku kyalo Pakamalungi nga byonna bisangibwa mu ggombolola y’e Magola, baatwaliddwa mu ddwaaliro nga bataawa.

Okusinzira ku Jorem Ogwang omu ku batuuze aberabiddeko n’agaabwe, omugagga John Okongo amanyikiddwa nga Wenga, yalangiridde empaka z’okunywa walagi era Mwereza ne Onyango bavuganya okunywa walagi lita satu (3) mu ddakika 30.

Abatuuze bagamba nti wakati mu kunywa,  bombi bagudde wansi nga bakutte ku mbuto, okanula amaaso ssaako n’okuwuuna.

Amangu ddala, babaddusiza mu ddwaaliro nga bombi tewali amazeemu lita 3 za walagi.

Abatuuze bagamba nti okunywa nga tebannalya, eyinza okuba emu ku nsonga lwaki bombi balemeddwa okuwangula empaka.

Wabula ssentebbe wa LC ey’okusatu (3) mu ggombolola y’e Magola, Ojwang Obbo agambye nti bonna abenyigidde mu kuteekateeka  empaka ezo, bagenda kukwatibwa.

Mungeri y’emu alabudde abatuuze okwenyigira mu mpaka ezibayamba okusinga okuzannyira ku bulamu.

The post Abantu 2 batwaliddwa mu ddwaaliro nga bataawa lwa kuvuganya mu kunywa walagi, empaka zibalemye okuwangula appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Abantu 2 batwaliddwa mu ddwaaliro nga bataawa lwa kuvuganya mu kunywa walagi, empaka zibalemye okuwangula"

Post a Comment