Poliisi ekutte 4 ku by’okutta omuntu e Kisoro, omulambo gusangiddwa mu mmere

Poliisi ekutte 4 ku by’okutta omuntu e Kisoro, omulambo gusangiddwa mu mmere

Poliisi y’e Kisoro ekutte abantu 4 ku by’okutta omuntu.

Maniriho Ronald Gahuza myaka 30 yattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo nga abadde mutuuze ku kyalo Karambi mu ggombolola y’e Nyarusiza mu disitulikiti y’e Kisoro ng’omulambo gwe gwasangiddwa mu nimiro y’obumonde mu katawuni k’e Birembo era mu ggombolola y’e Nyarusiza.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate, omulambo gwa Gahuza gwatwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kisoro okwekebejjebwa kyokka embwa za Poliisi ezikonga olusu zaasobodde okubayamba, okwata abantu 4 akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.

Abakwate kuliko Hafasha Stephen 35, Nizeyimana Alsen 23, Ntakababaze Joseph 41 ne Mweseneza Fred 20 nga bonna batuuze mu katawuni k’e Birembo ku kyalo Karambi mu ggombolola y’e Nyarusiza.

Poliisi egamba nti abakwate balabiddwako n’omugenzi nga bali mu bbaala kyokka bewunyiza okusangibwa ng’attiddwa.

The post Poliisi ekutte 4 ku by’okutta omuntu e Kisoro, omulambo gusangiddwa mu mmere appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Poliisi ekutte 4 ku by’okutta omuntu e Kisoro, omulambo gusangiddwa mu mmere"

Post a Comment