Bebe Cool abikudde ebyama, ayogedde amazima lwaki Museveni yalonze Buchaman ku nsonga za Ghetto ne Kusasira mu Kampala

Bebe Cool abikudde ebyama, ayogedde amazima lwaki Museveni yalonze Buchaman ku nsonga za Ghetto ne Kusasira mu Kampala

Kyaddaki omuyimbi Bebe Cool awadde ezimu ku nsonga lwaki omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo ku nsonga z’abantu b’omu Ghetto.

Bebe Cool agamba nti Pulezidenti Museveni mukulembeze wa bannayuganda bonna era y’emu ku nsonga lwaki yavuddeyo ku bantu b’omu Ghetto, okusobola okukola ku nsonga ezibanyigiriza.

Ku nsonga ya Museveni okulonda omuyimbi Catherine Kusasira okumuwabula ku nsonga z’omu Kampala ne Buchaman okumuwabula ku nsonga za Ghetto, Bebe Cool agambye nti “Museveni yabadde alina okulonda omuntu omutuufu ategeera obulungi ensonga za Ghetto era mu Uganda, Buchaman ye muntu omutuufu alina okwebuzibwako“.

Ate ku ky’okulonda Kusasira, Bebe Cool agambye nti, “Kusasira mukyala muyimbi ate muvubuka, okumulonda kiyamba nnyo okuzaamu essuubi abakyala mu Uganda n’okulaga nti asiima emirimu gyabwe“.

Bebe Cool agamba nti abantu balina okuwa ekitiibwa abantu abalondeddwa okuwereza eggwanga kuba buli munnayuganda alina obusoobozi mu ngeri ye.

The post Bebe Cool abikudde ebyama, ayogedde amazima lwaki Museveni yalonze Buchaman ku nsonga za Ghetto ne Kusasira mu Kampala appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Bebe Cool abikudde ebyama, ayogedde amazima lwaki Museveni yalonze Buchaman ku nsonga za Ghetto ne Kusasira mu Kampala"

Post a Comment