Troy awakanyiza eby’okumusiba mu kkomera emyaka 14 lwa kutta Radio, alangiridde ekiddako okutaasa waaya okulibwa ensekere n’ebiku, aba famire bamutabukidde
Munnamateeka wa Godfrey Wamala amanyiddwa nga Troy abikudde ekyama bw’ategeezeza nti bagenda kweyongerayo mu kkooti ejjulirwamu, ng’awakanya eky’okusiba omuntu we, emyaka 14.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna (31, October, 2019), omulamuzi wa kkooti enkulu etuula e Ntebbe Jane Frances Abodo, yasalidde Troy okusibwa emyaka 14, kyokka yamusaliddeko emyaka gy’akulungudde ku limanda mu kkomera e Kigo ery’omwaka ogumu (1) emyezi 8 n’ennaku 26.
Troy yagiddwako omusango gw’obutemu era yasingisiddwa gwa kutta Radio mu butanwa era mu kkooti, omulamuzi yagambye nti oludda oluwaabi, lwalemeddwa okuleeta obujjulizi obulaga nti Troy yalina ekigendererwa eky’okutta Radio.
Wabula munnamateeka wa Troy, Leonard Kasibante agamba nti bagenda kujjulira mu kkooti kuba omuntu we, teyamatidde na kibonerezo kyamuweereddwa.
Ate famire y’omugenzi Radio, egamba nti Troy yabadde agwanidde okusibwa okutuusa lwalifa kuba n’omuntu wabwe, gwe yatta talidda.
Mungeri y’emu bekokodde ekitongole ekya Poliisi obutafaayo nga Radio akubiddwa okulondoola ensonga, ekyawadde omukisa Troy okumuggyako omusango gw’obutemu nasingisibwa ogw’okutta omuntu mu butanwa.
Kinnajjukirwa nti Radio yakubwa ku bbaala ya De-Bar e Ntebbe nga 22, January, 2018, naafuna ebiwundu ku mutwe era wayita sabiti emu, n’afiira ku Case Medical Centre, Kampala nga 1, February, 2018, oluvanyuma yaziikibwa e Nakawuka mu disitulikiti y’e Wakiso nga 3, February, 2018.
0 Response to "Troy awakanyiza eby’okumusiba mu kkomera emyaka 14 lwa kutta Radio, alangiridde ekiddako okutaasa waaya okulibwa ensekere n’ebiku, aba famire bamutabukidde"
Post a Comment