Troy ali mu maziga lwa kutta Radio, aba famire balindiridde mulamuzi okatyemula

Troy ali mu maziga lwa kutta Radio, aba famire balindiridde mulamuzi okatyemula

Kali butemu Godfrey Wamala amanyiddwa nga Troy olunnaku olwaleero, lwategeera emyaka gyegenda okulungula mu kkomera ku misango gy’okutta eyali omuyimbi nakinku Mowzey Radio.
Sabiti eno ku Mmande, omulamuzi wa kkooti enkulu etuula Entebbe, Jane Frances Abodo, yasingisa Troy omusango gw’okutta Radio mu butanwa.
Aba famire, baali basaba omulamuzi, Troy avunaanibwe gwa butemu kyokka mu kkooti, omulamuzi yategeeza oludda oluwaabi, lwalemeddwa okuleeta obujjulizi obulaga nti Troy yakuba Radio mu bugenderevu.
Troy wadde yasingisiddwa omusango gw’okutta Radio mu butanwa, bwe yali yewozaako yegaana eby’okubba Radio wadde okwenyigira mu kulwanagana ekwaleka Radio ng’afunye ebisago.
Radio ayogerwako yakubwa mu bbaala ku bbaala ya De-Bar e Ntebe nga 22, January, 2018, n’afiira ku Case Medical Centre, Kampala nga 1, February, 2018, naziikibwa e Nakawuka mu disitulikiti y’e Wakiso nga 3, February, 2018.
Omulamuzi asuubirwa okuwa esala ye wakati we ssaawa 5 ku 6.



0 Response to "Troy ali mu maziga lwa kutta Radio, aba famire balindiridde mulamuzi okatyemula"

Post a Comment