KIWEDDE! Pasita Bugingo awangudde omusango, Teddy asigadde mu maziga ate omugole Makula yesuunga kumulambuza Kandaha
Kyaddaki omulamuzi wa kkooti e Kajjansi ku luguudo lwe Ntebbe Christine Nantege, awadde ensala ye ku musango gwa Pasita Aloysius Bugingo ne mukyala we Teddy Naluswa ku nsonga z’abaana.
Kinnajjukirwa nti Teddy yaddukira mu kkooti ng’avunaana bba Bugingo obutalabirira baana omuli okulemwa okubawerera.
Wabula omulamuzi Nantege mu kuwa ensala ye agambye nti Pasita Bugingo alina obuvunanyizibwa ku omwana omuto yekka Isaac Bugingo kuba ye akyali wansi w’emyaka 18.
Omulamuzi agamba nti abaana abalala Winnie Bugingo ne Jennifer Bugingo abali ku yunivasite basusizza emyaka 18 era simusango singa Pasita Bugingo agaana okubalabirira n’okubawerera.
Ate omusango gw’okubagattulula, Omukyala Teddy yaddukira mu kkooti enkulu ng’awakanya ekya kkooti y’e Kajjansi okuwa ensala yaayo.
Teddy agamba nti ye ne Pasita Bugingo balina eby’obugagga ebisukka mu buwumbi 2 era kkooti y’e Kajjansi terina buyinza kuyingira mu nsonga zaabwe kuba birimu ssente mpitirivu era kkooti enkulu yokka yerina obuyinza.
0 Response to "KIWEDDE! Pasita Bugingo awangudde omusango, Teddy asigadde mu maziga ate omugole Makula yesuunga kumulambuza Kandaha"
Post a Comment