TUBIKOOYE! Mukomye okumokkola ebigambo mu kusomesa abantu ku nsonga z’amaka, bassenga ne bakojja balabuddwa okweddako
Abakola omulimu gw’obwa ssenga ne bakojja n’okusingira ddala mu bitundu bya Buganda balabuddwa ku kumokkola ebigambo ebitayisika mu kamwa ekiviiriddeko ekitiibwa n’obuvunaanyizibwa bwa ba ssenga ne Kojja okubula.
Okulabula kukoleddwa Minisita w’obuwangwa n’ennono mu bwakabaka obwa Buganda wek. David Kyewalabye Male bw’abadde mu musomo ogw’okubangula ba ssenga ne ba kojja ogubadde ku mbuga enkulu e Bulange e Mengo.
Kyewalabye agamba nti ba Ssenga ne ba Kojja basukkiridde okweyambisa ebigambo ebinene n’okutambuliza ensonga zabwe mu kwegatta kyokka ate nga balina ensonga ez’enjawulo zebalina okwogerako.
Wabula abamu ku ba ssenga bagamba nti waliwo abantu abakola omulimu gwa ssenga olw’okunoonya ssente era y’emu ku nsonga lwaki n’okuwemula kweyongera ennyo.
Mungeri y’emu bagamba nti abantu balina okuddayo ku buwangwa ne nnono, abaana abawala okweyambisa ba ssenga abatuufu n’abaana abalenzi okunoonya ba Kojja abatuufu okusinga okunoonya abetaaga ssente kubuulirira.
The post TUBIKOOYE! Mukomye okumokkola ebigambo mu kusomesa abantu ku nsonga z’amaka, bassenga ne bakojja balabuddwa okweddako appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "TUBIKOOYE! Mukomye okumokkola ebigambo mu kusomesa abantu ku nsonga z’amaka, bassenga ne bakojja balabuddwa okweddako"
Post a Comment