KIGGWA LEERO! Abasajja bakedde mu sawuna okuwawula emisuwa gya waaya n’abakyala ogogola obusonda bwa vuvuzera, ku 60,000 ogikuba okutuusa ku makya
Newankubadde Poliisi eyongedde amaanyi mu kulwanyisa abantu abegumbulidde okusasaanya obuseegu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, buli lunnaku, ebikolwa byeyongera.
Sabiti ewedde nga 10, October, 2020 Poliisi yakutte abantu 21 e Kireka mu Monicipaali y’e Kira nga bali ku kabaga k’okusinda omukwano era abakwate mu kiseera kino bali mu kkomera ku misango egy’enjawulo omuli obwa malaaya, okusasaanya obuseegu n’emisango emirala.
Wabula nga wayise wiiki emu yokka, waliwo akabaga akalala ak’okusinda omukwano (Sex Party) e Kawala era ku mulundi guno okuyingira, ssente emitwalo 6 (60,000).
Ku ssimu, omuwala agamba nti ye Vicky era agamba nti omuntu yenna okwetaba mu ‘Sex Party’, alina okugenda e Kawala okumpi ne Kkanisa y’Omusumba Augustine Yiga Mbizzaayo.
Vicky era agamba nti ku mulundi guno, balina abawala abalungi, abato, abategeera kye bakola n’abasajja era ku mitwalo 60,000 weyagala okutuusa ku makya.
Mungeri y’emu agambye nti balina sawuna okuyambako abasajja n’abakyala abetaaga okugogola emibiri gyabwe era ku mulundi guno entekateeka nungi nnyo.
Poliisi egamba nti tukwatagane mu kulwanyisa obumenyi bw’amateeka mu ggwanga era ffe okuvaayo okuwandiika ku mboozi eno oluvanyuma lw’okunoonyereza, tugezaako okuyamba Poliisi okutegeera ebigenda mu maaso mu ggwanga, nekola ogwayo okukwata abamenyi bamateeka.
The post KIGGWA LEERO! Abasajja bakedde mu sawuna okuwawula emisuwa gya waaya n’abakyala ogogola obusonda bwa vuvuzera, ku 60,000 ogikuba okutuusa ku makya appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "KIGGWA LEERO! Abasajja bakedde mu sawuna okuwawula emisuwa gya waaya n’abakyala ogogola obusonda bwa vuvuzera, ku 60,000 ogikuba okutuusa ku makya"
Post a Comment