LABA OKUSWALA! Eddy Kenzo yekubye J, alidde ebigambo bye ku Bobi Wine, aswazizza emyaka gye

LABA OKUSWALA! Eddy Kenzo yekubye J, alidde ebigambo bye ku Bobi Wine, aswazizza emyaka gye

Abamu ku bawagizi b’ekisinde ki People Power batabukidde omuyimbi Eddy Kenzo myaka 31 nga bagamba nti yekubye J era asukkiridde okuswaza emyaka gye.

Kenzo yatabukidde Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) era omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu nti asukkiridde okumanyiira abayimbi n’okubanafuya.
Kenzo era agamba nti Bobi Wine asukkiridde okwegulumizza nti ye muntu wanjawulo nnyo, okuyisaamu abayimbi amaaso ate alina enkwe.

Mungeri y’emu yagambye nti singa Bobi Wine awangula obukulembeze bw’eggwanga, ye mwetegefu okuva mu ggwanga kuba Bobi musajja simwangu.

Agamba nti kiswaza Bobi Wine okusaba abayimbi okumwegattako mu kukyusa eggwanga mu kulonda kwa 2021 kyokka abayimbi abayisaamu amaaso era asukkiridde akwegulumizza nti ye muntu wanjawulo nnyo.

Wabula aba People Power bagamba nti Kenzo yekubye J era alidde ebigambo bye ku Bobi Wine.

Aba People Power bagamba nti Kenzo yagamba nti ye ng’omuyimbi talina kwenyigira mu byobufuzi kuba kiyinza okwawulamu abawagizi be kyokka bewunyizza okulumbagana Bobi Wine ng’ayogera ku byabufuzi.

The post LABA OKUSWALA! Eddy Kenzo yekubye J, alidde ebigambo bye ku Bobi Wine, aswazizza emyaka gye appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "LABA OKUSWALA! Eddy Kenzo yekubye J, alidde ebigambo bye ku Bobi Wine, aswazizza emyaka gye"

Post a Comment