KYOKKA ABASAJJA! Wuuno taata akwattiddwa ng’asinda omukwano ne muwala we, amukubye waaya y’obukadde okumwerabiza abavubuka
Poliisi ezzeemu okunoonyereza ku ssemaka ku misango gy’okusobya ku muwala we myaka 15 mu ssaaza lye Lagos mu ggwanga erya Nigeria.
Taata Emmanuel Udoh agamba nti abadde anyumya ne muwala we akaboozi nga talimu kutya kwona kuba abadde akimanyi bulungi tasobola kumufunyisa lubuto, “I have had s*xual intercourse with her severally. It is a normal thing and I don’t see anything bad in sleeping with my daughter because I know she will not get pregnant“.
Taata Udoh abadde yayawukana ne mukyala we era maama yabadde yasindise omwana ewa kitaawe okufuna School Fees wabula taata yamufudde mukyala we.
Omwana agamba nti nga 13, September, 2019, kitaawe lwe yasooka okumusobyako era yamusuubiza okumutta singa anyumizaako omuntu yenna.
Agamba nti okuva mu September, kitaawe abadde amusobyako buli sabiti nga yamufuula mukyala we mu nnyumba okutuusa lwe yakwattiddwa mu April, 2020.
Wabula Poliisi egamba nti erina okunoonyereza ku bintu eby’enjawulo okuzuula oba ddala omusajja talina kikyamu kyonna ku mutwe.
Taata Udoh yasaangiddwa lubona ng’asinda omukwano ne muwala we omu ku bafamire kwe kutemya ku Poliisi.
The post KYOKKA ABASAJJA! Wuuno taata akwattiddwa ng’asinda omukwano ne muwala we, amukubye waaya y’obukadde okumwerabiza abavubuka appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "KYOKKA ABASAJJA! Wuuno taata akwattiddwa ng’asinda omukwano ne muwala we, amukubye waaya y’obukadde okumwerabiza abavubuka"
Post a Comment