KITALO! Owa LDU attiddwa mu bukambwe, atemeddwa obufififi, UPDF ne Poliisi bakutte 6
Poliisi ng’eyambibwako amaggye ga UPDF ekutte abantu mukaaga (6) ku misango gy’okutta omukuumi wa Local Defence Unit – LDU mu disitulikiti y’e Kaabong.
Paul Apeyo yattiddwa ku Lwokuna ekiro nga 23, July, 2020 mu Katawuni k’e Kalapata nga yatemeddwa ebiso omubiri gwonna.
Jino Lopeto, ssentebbe wa LC 3 e Kalapata agamba nti Apeyo yabadde ali ne banne emisana nga bali mu kunywa okutuusa akawungeezi era kigambibwa yattiddwa mikwano gye abamuwondedde bwe yabadde addayo mu baalakisi ekiro ne bamutematema amajambiya omubiri gwonna okutuusa lwe yafudde.
Addumira Poliisi y’e Kaabong, Gerald Gubira akakasizza okuttibwa kwa Apeyo era agambye nti Poliisi etandiise okunoonya abantu bonna abaabadde n’omugenzi mu kiseera ky’okunywa omwenge babayambeko mu kunoonyereza.
The post KITALO! Owa LDU attiddwa mu bukambwe, atemeddwa obufififi, UPDF ne Poliisi bakutte 6 appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "KITALO! Owa LDU attiddwa mu bukambwe, atemeddwa obufififi, UPDF ne Poliisi bakutte 6"
Post a Comment