AUDIO! Wuuno Kkondo mu kubba emmotoka mu Kampala akwattiddwa, Poliisi emwogezza

AUDIO! Wuuno Kkondo mu kubba emmotoka mu Kampala akwattiddwa, Poliisi emwogezza

Poliisi ekutte omusajja omulala abadde yenyigira mu kubba emmotoka mu bitundu bye Kabowa mu divizoni y’e Rubaga mu Kampala.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, omukwate ye Mark Ssebina era kigambibwa yabadde akulembera ekibinja ky’ababbi.

Mark Ssebina
Mark Ssebina

Ssebina akwattiddwa ku by’okubba emmotoka namba UAJ 713M nga 16, July, 2020 okuva mu zzooni y’e Kabowa Church, Rubaga mu Kampala.

Onyango agamba nti Ssebina olukwattiddwa, akulembeddemu abasirikale okubatwala mu Galagi, ‘New Life Auto Garage’ ku luguudo lwe Busabala, Makindye mu Kampala gy’abadde yakweka emmotoka enzibe nga batandiise okugitema sipeeya.

Emmotoka ezuuliddwa
Emmotoka ezuuliddwa

Ssebina atwaliddwa ku Poliisi y’e Kabowa ku misango gy’obubbi nga Poliisi bw’enoonya abalala abali mu kabinja k’ababbi abenyigidde mu kubba emmotoka mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo.

Eddoboozi lya Onyango

 

 

The post AUDIO! Wuuno Kkondo mu kubba emmotoka mu Kampala akwattiddwa, Poliisi emwogezza appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "AUDIO! Wuuno Kkondo mu kubba emmotoka mu Kampala akwattiddwa, Poliisi emwogezza"

Post a Comment