KANYABO! Laba obuzibu Rema bw’ayolekedde mu bufumbo bwa Hamzah olwa waaya, agenda kwejjusa okukaabye Kenzo amaziga, Ssenga Kawomera alagudde

KANYABO! Laba obuzibu Rema bw’ayolekedde mu bufumbo bwa Hamzah olwa waaya, agenda kwejjusa okukaabye Kenzo amaziga, Ssenga Kawomera alagudde

Ssenga Kawomera omukugu mu nsonga z’omukwano akubye ttooci mu bigambo by’omuyimbi Rema Namakula ku bba Dr. Hamzah Ssebunya.

Omwezi oguwedde ku lunnaku lwa Bataata, Rema yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okutendereza bba Dr. Ssebunya okumwagala n’omwana we Aamaal Musuuza gwe yazaala mu Eddy Kenzo.

Rema yagambye nti Dr. Ssebunya yamuyamba okumwagala kuba Kenzo yali amuzaddemu omwana ate sikyangu abavubuka okutwala omukyala eyazaalako, “Forever grateful to this wonderful man for embracing my daughter and i…..you have made us feel special and loved in every kind of way. Sikyangu kwagala mukazi azadeko nolwekyo we are blessed to have you“.

Wabula Ssenga Kawomera agamba nti Rema yabadde mutuufu okusiima bba naye yakoze nsobi okugamba nti yamuyamba.

Ssenga agamba nti Rema yali alina omusajja kyokka okulaga nti Ssebunya yamuyamba, kiyinza okuwa omusajja ebeetu okutandiika okumumanyira.

Agamba nti omukyala yenna asobola okukola ebintu eby’enjawulo okulaga okusiima kwe eri omusajja okusiga okukiteeka mu lwatu kuba Ssebunya ayinza okuba kati mulungi kyokka ayinza okuggyayo empisa embi, Rema ne yejjusa okusuulawo Kenzo n’okumukaabya amaziga.

Rema yayanjula bba Dr. Ssebunya mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka oluvanyuma lw’okusuulawo taata w’omwana we omuyimbi Kenzo era akoze ebintu eby’enjawulo, okulaga ensi nti ye ne bba Dr. Ssebunya ebintu bitambula bulungi nnyo.

The post KANYABO! Laba obuzibu Rema bw’ayolekedde mu bufumbo bwa Hamzah olwa waaya, agenda kwejjusa okukaabye Kenzo amaziga, Ssenga Kawomera alagudde appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "KANYABO! Laba obuzibu Rema bw’ayolekedde mu bufumbo bwa Hamzah olwa waaya, agenda kwejjusa okukaabye Kenzo amaziga, Ssenga Kawomera alagudde"

Post a Comment