AUDIO ENKAMBWE! Omubaka Ida Nantaba ayogedde amazima ku nsonga za Poliisi okukwata Omuyimbi Kiwewa ku lwa Zaake, atabukidde Poliisi

AUDIO ENKAMBWE! Omubaka Ida Nantaba ayogedde amazima ku nsonga za Poliisi okukwata Omuyimbi Kiwewa ku lwa Zaake, atabukidde Poliisi

Kyaddaki omubaka omukyala owe Kayunga Ida Erios Nantaba myaka 40 eyaliko Minisita omubeezi ow’ebyempuliziganya, kompyuta ne tekinologiya avuddeyo ku nsonga za Poliisi okukwata omuyimbi wa Kadongokamu Gerald Kiwewa ku nsonga z’oluyimba lwe Nantaba.
Ku lunnaku Olwokuna nga 23, July, 2020, Poliisi yakwata Kiwewa kubigambibwa nti Nantaba yaloopa omusango eri ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID nti Kiwewa yamuvumidde mu luyimba Nantaba.
Poliisi egamba nti Nantaba yakoze sitetimenti numba GEF 442/2020 ku kitebe kya CID e Kibuli, nga yemulugunya ku luyimba ‘Nantaba era amangu ddala Kiwewa yakwattiddwa okuva mu makaage e Maganjo mu disitulikiti y’e Wakiso.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano SP, Patrick Onyango, yakakasizza okukwattibwa kwa Kiwewa nti yatwaliddwa ku kitebe kya CID okwewozaako.

Mu luyimba “Nantaba”, Kiwewa agamba nti Nantaba alina okwesonyiwa Zaake kuba y’emu ku nsonga lwaki akubwa nnyo.
Poliisi era egamba nti omubaka Nantaba agamba nti oluyimba lwa Kiwewa era lugendereddwamu n’okusiiga obukyayi mu bantu.

Wabula Nantaba atabukidde ekitongole kya Poliisi okumusiiga enziro nti yalagidde okukwata omuyimbi Kiwewa.
Agamba nti Poliisi ya Uganda ejjuddemu kawukuumi era y’emu ku nsonga lwaki waliwo abantu bangi abattiddwa nga bekuusa ku Poliisi.

Bw’abadde ku NBS TV, Omubaka Nantaba agambye nti ensonga za Kiwewa tazimanyiko wadde era tannaba kulagira Poliisi kumukwata kuba Kiwewa musajja muyimbi alina okunoonya ssente okulabirira famire.
Mungeri y’emu agambye nti mu Uganda mulimu abantu bangi ba Nantaba era tewali nsonga yonna lwaki ayinza okukwata Kiwewa lwa linnya Nantaba.

Omubaka Nantaba agamba nti kino ekiseera kya byabufuzi era waliwo abantu bangi abamulwanyisa era y’emu ku nsonga lwaki Kiwewa yakwattiddwa nga beerimbise mu linnya lye.

Eddoboozi lya Nantaba

The post AUDIO ENKAMBWE! Omubaka Ida Nantaba ayogedde amazima ku nsonga za Poliisi okukwata Omuyimbi Kiwewa ku lwa Zaake, atabukidde Poliisi appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "AUDIO ENKAMBWE! Omubaka Ida Nantaba ayogedde amazima ku nsonga za Poliisi okukwata Omuyimbi Kiwewa ku lwa Zaake, atabukidde Poliisi"

Post a Comment