KITALO! Jjajja akwattiddwa ku by’okutta muzzukulu we myaka 3, amunyodde ensingo lwa mputtu
Poliisi y’e Kiira Road ekutte jjajja Joyce Seguya Nakiganda myaka 58 ku by’okutta muzzukulu we Emmanuel Mutabazi myaka 3 n’ekitundu.
Mutabazi mutuuze mu zzooni y’e Kisalosalo, Kyebando mu Kampala.
Joan Okia neyiba wa Nakiganda agamba nti yawulira omwana ng’akaaba nnyo ku Lwokutaano ekiro kyokka bwe yagenda okutaasa, jjajja Nakiganda yamugoba namutegeeza nti yali abonereza muzzukulu we.
Ate John Oboth nga naye neyiba agamba nti okulwanagana okwabadde mu nnyumba wakati wa jjajja n’omuzzukulu kwabadde kwamaanyi nnyo kyokka Nakiganda yabalemesezza okutaasa.
Ssentebbe we Kisalosalo Kyebando, Geoffrey Kasheija agamba nti Nakiganda yamukubidde essimu okumuteegeza nti omuzzukulu tali mu mbeera nungi nga yetaaga obuyambi okumutwala mu ddwaaliro.
Kasheija agamba nti oluvanyuma yategeezeddwa nti omwana afudde kwekuyita poliisi okunoonyereza.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agambye nti Nakiganda yatuze omuzzukulu Mutabazi ekyavuddeko okufa kwe.
Owoyesigyire agamba nti Nakiganda balina okumutwala mu ddwaaliro okumwekebejja obwongo.
The post KITALO! Jjajja akwattiddwa ku by’okutta muzzukulu we myaka 3, amunyodde ensingo lwa mputtu appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "KITALO! Jjajja akwattiddwa ku by’okutta muzzukulu we myaka 3, amunyodde ensingo lwa mputtu"
Post a Comment