MUNSONYIWE! Bobi Wine tagenda kwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu 2021, asabye abawagizi be okuddamu okulonda Y.K Museveni kuba yagwanidde

MUNSONYIWE! Bobi Wine tagenda kwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu 2021, asabye abawagizi be okuddamu okulonda Y.K Museveni kuba yagwanidde

Kyaddaki omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine alangiridde nti mu 2021, tagenda kwesimbawo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda.
Mu Uganda, bangi ku bavubuka bagamba nti Bobi Wine alina obusobozi okukyusa obuyinza, okuggya Pulezidenti Museveni mu buyinza.
Mu kiseera kino, Bobi Wine y’omu ku bantu abasukka 20 abali mu kwebuuza ku bantu ku ky’okwesimbawo ku bwa Pulezidenti.

Wadde bangi ku bannayuganda balindiridde Bobi Wine okwesimbawo, enkya ya leero asabye abantu okumusonyiwa.
Bobi Wine agambye nti talina busobozi kukulembera ggwanga lino wadde alina obusobozi era asabye abawagizi be bonna, okuddamu okulonda Pulezidenti Museveni mu kulonda kwa 2021.
Mungeri y’emu Bobi Wine agambye nti mu Uganda, Museveni yekka ye muntu omutuufu alina okuba mu buyinza kuba kirabo kya Katonda era bannayuganda tebalina kwejjusa.
Ebigambo bye, biraga nti ayimiriza eky’okuddamu okwebuuza ku bantu ku ky’okwesimbawo ku bwa Pulezidenti.

 

Jjukira nti olunnaku olwaleero, 1, April, lunnaku lwa Fools Day lwe bakazaako olw’okulimba era byonna ebiwandikiddwa bya bulimba.

The post MUNSONYIWE! Bobi Wine tagenda kwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu 2021, asabye abawagizi be okuddamu okulonda Y.K Museveni kuba yagwanidde appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "MUNSONYIWE! Bobi Wine tagenda kwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu 2021, asabye abawagizi be okuddamu okulonda Y.K Museveni kuba yagwanidde"

Post a Comment