
Okutta omukuumi e Bukasa, Poliisi efunye akatambi ng’abatemu batuuka, erangiridde ekiddako
Baca Juga
- AUDIO: John Blaq Wakes Up From Music Slumber As Star Singer Drops New Hair Lifting Banger ‘Don’t Be Like’
- TUBIKOOYE! Obuganda butabukidde Poliisi olwa ttiyaggaasi, Kattikiro Peter Mayiga alangiridde ekiddako mu bukambwe
- ESSANYU! Col. Kaka Bagyenda eyagobeddwa mu ISO agudde mu bintu, Pulezidenti Museveni amuwadde ogufo ogusava okulumya abayaaye
Kyaddaki Poliisi efunye akatambi, akalaga abatemu abatta omukuumi eyali asindikiddwa okukuuma ku kibiina ky’ obwannakyewa ekirwanirira eddembe ly’abaana ekya Good Neighbours e Bukasa-Muyenga mu disitulikiti ya Kampala.
Omukuumi Rodgers Nasasira yattibwa sabiti ewedde ku Lwokusatu nga 4, March, 2020 era ababbi baatwala ebintu eby’enjawulo omuli Laptop 4 ssaako n’ebintu ebirala.
Nasasira yali mukuumi mu kitongole ekya Security 2000 era yazuulibwa ng’attiddwa, bakozi banne ku ssaawa 1 ey’okumakya, abaali bakedde okumukyusa okuteekawo omukuumi omulala.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Patrick Onyango, Poliisi yafunye akatambi akalaga abatemu nga batuuka era Poliisi yaabwe enoonyereza etandiise okwekebejja akatambi, okuzuula abatemu.
The post Okutta omukuumi e Bukasa, Poliisi efunye akatambi ng’abatemu batuuka, erangiridde ekiddako appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Okutta omukuumi e Bukasa, Poliisi efunye akatambi ng’abatemu batuuka, erangiridde ekiddako"
Post a Comment