KITALO! Laddu esse abasomesa 2 e Buyende, abayizi 15 bataawa
Laddu esse abasomesa babiri (2) ku ssomero lya Queen Zainab primary school ku kyalo Bugaya mu disitulikiti y’e Buyende ate abayizi 15 batwaliddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi.
Abasomesa okuli Babra Birungi ne Mathias Wandyaka, Laddu yabakubye mu nkuba eyafudembye akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.
Okusinzira ku mukulu w’essomero Christine Babirye, enkuba yatikuddeko obusolya ku bizimbe ebimu era abasomesa n’abaana baakunganidde mu kizimbe kya ‘main hall’, Laddu gye yabasangirizza.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga North, Michael Kasadha agambye nti abaana abakoseddwa baddusiddwa mu ddwaaliro lya Ikumbya health centre IV okufuna obujanjabi era bali mu kuteekateeka okubatwala mu ddwaaliro lye Jinja.
The post KITALO! Laddu esse abasomesa 2 e Buyende, abayizi 15 bataawa appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "KITALO! Laddu esse abasomesa 2 e Buyende, abayizi 15 bataawa"
Post a Comment