Ekya Rema okuzza ku mwana wa Kenzo kiwedde, 2020 tulinda mwana, Dr. Ssebunya ali mu ssannyu
Omuyimbi Rema Namakula amaliridde okuzza ku mwana we Aamaal Musuuza Malaika okusobola okunyweza obufumbo bwe ne bba Dr. Hamzah Ssebunya.
Rema yayanjula Dr. Ssebunya mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka oluvanyuma lw’okusuulawo eyali bba omuyimbi Eddy Kenzo gwe yali azaalidde omwana omu yekka mu myaka 4 n’ekitundu nga bali mu bufumbo bwa kawundo kakubye eddirisa.
Mu bufumbo, omukyala okuzaala omwana y’emu ku mpagi eyimirizaawo amaka wadde omukyala mulungi.
Getufunye galaga nti Rema ayinza okuba ali lubuto lwa Ssebunya wadde tannamukuba mbaga.
Okusinzira ku mukwano gwa Rema agaanye okwatuukiriza erinnya lye, obubonero bwonna bulaga nti mukyala Ssebunya ali lubuto, okulaga ensi nti ddala ali mu bufumbo.
Mukwano gwa Rema agamba nti, “Nze nnazaalako era singa omuntu yenna aba lubuto nsobola bulungi okumutegeera, olaba Rema afunye omubiri ate asukkiridde okuyoya ebintu eby’enjawulo, ekiraga nti ayinza okuba ali lubuto. Kale tannaba kulaba bulungi kuba ayagala nnyo engoye ennene wabula kirabika olubuto lwa myezi 2 oba 3 era bw’aba wakuzaala, alina kuzaala mu guno omwaka gwa 2020. Mwana gwe nkwesiga, toyogera erinnya lyange, Rema ayinza okunkyawa ne bba ayagala okukola ebintu bye mu nkukutu“.
The post Ekya Rema okuzza ku mwana wa Kenzo kiwedde, 2020 tulinda mwana, Dr. Ssebunya ali mu ssannyu appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Ekya Rema okuzza ku mwana wa Kenzo kiwedde, 2020 tulinda mwana, Dr. Ssebunya ali mu ssannyu"
Post a Comment