Barbie abikudde ekyama, ayogedde ekimufuula omukyala ow’enjawulo ku balala, akubye abawala akaama
Kabiite w’omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), Barbie Itungo abikudde ekyama lwaki mukyala wanjawulo nnyo ku bakyala abalala.
Barbie mukyala muzadde, alina abaana bana (4), alabika bulungi kuba ategeera kye bayita okwekuumira ku mutindo, mukyala alina okwagala era omukwano wakati we ne bba Bobi Wine, bangi ku bannansi mu ggwanga Uganda babegomba.
Wabula asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga lwaki atuuse ku bintu eby’enjawulo n’okwegombwa abantu abalala.
Barbie agamba nti ssi mukisa wabula okwagala kwa Katonda y’emu ku nsonga lwaki ali kyaali mu kiseera kino. Agamba nti bwe kiba ekiseeta kyo, tewali kintu kyonna kiyinza kukiremesa olw’obuyinza bwa Katonda n’okulwanirira abantu be, “It’s not Luck. Its God’s favor shining down on me. When it’s your time, no break, no shortfall, no injustice will stop you. All the doors will be open for no one else but God to shut“.
The post Barbie abikudde ekyama, ayogedde ekimufuula omukyala ow’enjawulo ku balala, akubye abawala akaama appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Barbie abikudde ekyama, ayogedde ekimufuula omukyala ow’enjawulo ku balala, akubye abawala akaama"
Post a Comment