Aba Red Top Brigade abaalumba Palamenti baziddwa e Luzira lwa Densite, Omulamuzi abawadde amagezi
Omulamuzi wa kkooti ku City Hall mu Kampala azzeemu okusindika ku Limanda abavubuka babiri (2) abaakwatibwa ku misango gy’okulumba Palamenti.
Abavubuka okuli Dafala Ssenjako ne Charles Mutaasa Kafeero, baalumba palamenti omwezi oguwedde ogwa Febwali era bali ku misango esatu (3) omuli okulumba Palamenti, okutaataganya entuula za Palamenti ssaako n’okwonoona ebintu bya Palamenti.
Ku Poliisi, bategeeza nti bavudde mu kabinja ka Red Top Brigade era bali ku ddimu lwa kulwanyisa buli bwanguzi nga bagamba nti Gavumenti ekyalemeddwa okukwata abantu bonna abenyigidde mu kulya enguzi.
Nga 25, Omwezi oguwedde ogwa Febwali, Omulamuzi Fatuma Nabirye yakirizza okubayimbula, kakalu ka kkooti ka miriyoni emu (1,000,000) n’okuwaayo Densite zaabwe.
Abavunaanibwa bawaayo ssente ezaabasabibwa kyokka bakyalemeddwa okuvaayo Densite zaabwe mu kkooti nga bagamba nti Densite zabagwako mu kiseera nga bakwatibwa mu Palamenti.
Olunnaku olwaleero, Detective Sergeant Alex Jurua okuva ku Palamenti, ategeezezza omulamuzi nti ku Palamenti balina ‘photocopy’ za Densite zaabwe zokka.
Omulamuzi azzeemu okusindika abavunaanibwa ku limanda mu kkomera okutuusa nga 26, March, 2020 n’okulagira munnamateeka waabwe Eron Kiiza okuddamu okusaba kkooti okuddamu okwekeneenya obukwakulizo obwateekebwawo mu kusaba okweyimirirwa.
Omulamuzi Nabirye alagidde Kiiza okutwala okusaba kwabwe mu maaso g’omulamuzi mu kkooti ku Buganda Road n’okulagira ekitongole eky’amakkomera okuwa abasibe obujanjabi oluvanyuma lw’okutegeeza nti balwadde nga baakubwa mu kiseera nga bakwatibwa ku Palamenti.
The post Aba Red Top Brigade abaalumba Palamenti baziddwa e Luzira lwa Densite, Omulamuzi abawadde amagezi appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Aba Red Top Brigade abaalumba Palamenti baziddwa e Luzira lwa Densite, Omulamuzi abawadde amagezi"
Post a Comment