Wuuno mbega Kenzo gwe yasindika ku kivvulu kya Rema okuketta ebigenda mu maaso, abawagizi bamutabukidde lwa nnaku 5
Abawagizi b’omuyimbi Rema Namakula batabukidde omuyimbi Christopher Evans amanyikiddwa nga Chris Evans ku by’okuwa Rema nsalesale wa nnaku 5 nga yetoonze.
Kinnajjukirwa nti, sabiti ewedde ku Lwokutaano mu konsati ya Rema ku ‘Hotel Africana’ mu Kampala, Rema yali agezaako okugoba Evans ku siteegi bwe baali bayimba oluyimba ‘Linda’.
Mu luyimba, Rema agamba nti “Ekitugatta gwe mukwano guno
Toguzanyisa gukwate mpola oh
Tokuyita kuyomba nawe olaba
Bbanga liweze nga nkulinze honey totuuka
Bw’olwayo munnage
Oba ng’agamba
Nti nfe naye nga nkukozeeki?
N’essimu otuga ntuge
Ne ntaawa ne nkaaba
Kyokka otuuse ate era ogenda oh
Nawe linda
Linda bambi darling (uh uh)
Togenda (eeh)
Nze love ennuma (I got to go)
Buli kiseera
Mba nkulinze
Oba busy
Kyokka otuuse
Ate era ogenda (oh) x2“.
Mu kivvulu, Evans bwe yatandika okuyimba ekitundu kye, yategeeza nti Kenzo yaddamu nti, “Nkwagala ennyo ekyo nawe okimanyi
Naluli nakuwa olugoye
Ne lwotondabye ekiro yeggwe gwendoota
Ne lwesizze ntuma omubaka
Sister wange akukuume
Ekiro oleme okutya mu nju
Kuba ekizibu
Nina okufuba
Noonye ensimbi
Twezimbe
Eno embeera
Ndabe nga ekyukako
Kale tonyiiga
Tokaaba“, wabula bwe yali akyayimba, Rema yamukwata ku mukono okumuggya ku siteegi kuba yali anyiize nnyo Evans okuleeta ebintu bya Kenzo ku kivvulu kye ate mu maaso ga bba Dr. Hamzah Ssebunya.
Ku nsonga eyo, Evans yawadde Rema ennaku 5 zokka okwetonda kuba okumuggya ku siteegi ng’ali mu kuyimba, kyamunyizizza nnyo kuba yatyobodde ekitiibwa kye.
Wabula abamu ku bawagizi ba Rema batabukidde Evans okusaba omuntu wabwe nti alina okwetonda.
Abawagizi okuli Stella, Shamim ne Joan mu Kampala bagambye nti, “Wabula Evans alina empisa embi, okimanyi nti yali asse ekivvulu kya munne, ku lunnaku olwo, yali Valentayine, Rema ng’ali ne bba Hamzah kyokka Evans olw’okuba alina akayimba ne Rema, ofunye omukisa okulinya ku siteegi ate wesiriwaza. Tosobola kutwala buugi mu bbaala, kwogera ku Kenzo ku kivvulu kya munne era kirabika Evans mbega wa Kenzo eyali asindikiddwa okuketta ebigenda mu maaso ku kivvulu naye aswadde kuba tekimuyamba era Rema tasobola kwetonda“.
Abawagizi ba Kenzo era basabye Kenzo okwesonyiwa Rema wadde yamuzaalamu omwana kuba alina okukiriza nti omukyala yageenda nga tekikola makulu kumwogerako buli lunnaku kuba ne Rema yamwesonyiwa.
The post Wuuno mbega Kenzo gwe yasindika ku kivvulu kya Rema okuketta ebigenda mu maaso, abawagizi bamutabukidde lwa nnaku 5 appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Wuuno mbega Kenzo gwe yasindika ku kivvulu kya Rema okuketta ebigenda mu maaso, abawagizi bamutabukidde lwa nnaku 5"
Post a Comment