Wuuno omuvubuka myaka 18 eyasiba omwana emiguwa emikono n’okuteeka ebigoye mu kamwa asindikiddwa e Luzira ku misango gy’okujjula ebitanajja

Wuuno omuvubuka myaka 18 eyasiba omwana emiguwa emikono n’okuteeka ebigoye mu kamwa asindikiddwa e Luzira ku misango gy’okujjula ebitanajja

Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Yasin Nyanzi asindise ku limanda mu kkomera e Luzira Michael Kirende myaka 18 ku misango gy’okusobya ku mwana myaka 16 namusiiga siriimu.
Mu kkooti, Kirende yegaanye emisango gyonna, omulamuzi Nyanzi kwe kumusindika ku Limanda okutuusa nga 30, omwezi gunno ogwa Janwali, 2020.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 25, Janwali, 2018 ku kyalo Kakungulu mu Divizoni y’e Kawempe, mu Kampala, Kirende yanyumya akaboozi n’omuwala omuto n’ekigendererwa eky’okusiiga obulwadde.
Mu kkooti, obujjulizi bulaga nti omwana omuwala nga munnansi wa Kenya yali mutuuze ku kyalo Kanyanya, era Kirende yamusika namutwala mu lukuubo, emikono gyombi yagisiba emiguwa, namuteeka olugoye mu kamwa okumutangira okuwogana oluvanyuma namusobyako.

The post Wuuno omuvubuka myaka 18 eyasiba omwana emiguwa emikono n’okuteeka ebigoye mu kamwa asindikiddwa e Luzira ku misango gy’okujjula ebitanajja appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Wuuno omuvubuka myaka 18 eyasiba omwana emiguwa emikono n’okuteeka ebigoye mu kamwa asindikiddwa e Luzira ku misango gy’okujjula ebitanajja"

Post a Comment