Kyaddaki Poliisi ezudde nnanyini kizimbe kya kalina eyasaddaase abantu 6 e Kansanga, abawagizi ba Eddy Kenzo muswadde ebyama bizuuse
Poliisi egamba nti ekyanoonyereza ku kizimbe kya Kalina ekyagwa e Kansanga nga kiri ku musingi, okumpi n’essomero lya Kansanga Secondary School, ettaka ne libutikkira abantu era mukaaga (6) ne bafa.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abakwasaganya eby’okuzimba mu kitongole ki KCCA bakyalina okunoonyereza okuzuula ekyavaako omusingi okuyiikamu ne gutta abantu.
Mungeri y’emu Poliisi ezudde omugagga nnanyini kizimbe nti ye Umar Katongole kyokka mu kiseera kino aliira ku nsiko ne yinginiya eyali akwasiddwa omulimu gw’okuzimba Kalina.
The post Kyaddaki Poliisi ezudde nnanyini kizimbe kya kalina eyasaddaase abantu 6 e Kansanga, abawagizi ba Eddy Kenzo muswadde ebyama bizuuse appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Kyaddaki Poliisi ezudde nnanyini kizimbe kya kalina eyasaddaase abantu 6 e Kansanga, abawagizi ba Eddy Kenzo muswadde ebyama bizuuse"
Post a Comment