KITALO! Omwana asse jjajjaawe mu bukambwe, amukubye eccupa y’omwenge ku mutwe, akwattiddwa abitebye

KITALO! Omwana asse jjajjaawe mu bukambwe, amukubye eccupa y’omwenge ku mutwe, akwattiddwa abitebye

Poliisi y’e Amuru ekutte omusajja myaka 27 ku misango gy’okutta Jjajjaawe.

Kigambibwa Anthony Ojok, omutuuze ku kyalo Kal A Cell mu Tawuni Kanso y’e Pabbo yakubye jjajaawe Catherine Acayo okutuusa lwe yafudde ku lunnaku Olwokutaano oluvanyuma lw’okufuna obutakaanya.

Christopher Odongkara, ssentebbe wa LC III mu tawuni Kanso y’e Pabbo agambye nti Ojok yakomyewo nga yenna atamidde, ekyavuddeko okuyomba ne jjajjaawe n’okulwanagana.

Mungeri y’emu agambye nti Ojok yakubye jjajjaawe eccupa y’omwenge ku mutwe emirundi egiwera okutuusa lwe yafudde.

Emmanuel Bwambale, addumira Poliisi mu bitundu bye Amuru agambye nti Ojok ali mu mikono gyabwe ku misango gy’okutta omuntu era okunoonyereza kutandiise.

The post KITALO! Omwana asse jjajjaawe mu bukambwe, amukubye eccupa y’omwenge ku mutwe, akwattiddwa abitebye appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "KITALO! Omwana asse jjajjaawe mu bukambwe, amukubye eccupa y’omwenge ku mutwe, akwattiddwa abitebye"

Post a Comment