Imaama akwattiddwa lubona ng’asinda omukwano n’omwana omuto mu dduuka e Kawempe, amukubye waaya nawuunga

Imaama akwattiddwa lubona ng’asinda omukwano n’omwana omuto mu dduuka e Kawempe, amukubye waaya nawuunga

Poliisi y’e Kawempe ekutte Imaamu ku by’okusobya ku mwana omuto ali mu siniya ey’okubiri (S2).

Sheik Kafero Muhammad Abdullah 40, Imaamu ku BiIlali Mosque e Bwaise nga mutuuze ku kyalo Nabukaru mu Divizoni y’e Kawempe, yasangiddwa lubona ng’asinda omukwano n’omwana myaka 16 mu dduuka ku Lwokuna ekiro.

Omwana muyizi ku Bumutanzi Senior Secondary School.

Okusinzira ku Fred Mutesasira akulira ebyokwerinda ku kyalo, afunye okwemulugunya okuva mu bantu ab’enjawulo nti Sheik Kafero asukkiridde okusobya ku baana abato kyokka baludde nga bamulinya akagere.

Mutesasira era agambye nti Sheik Kafero abadde akozesa omukisa gw’okusomesa abaana Kulaani okubasobyako.

Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, akakasizza okukwattibwa kwa  Kafero era agambye nti okunoonyereza kutandikiddewo mbagirawo.

The post Imaama akwattiddwa lubona ng’asinda omukwano n’omwana omuto mu dduuka e Kawempe, amukubye waaya nawuunga appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Imaama akwattiddwa lubona ng’asinda omukwano n’omwana omuto mu dduuka e Kawempe, amukubye waaya nawuunga"

Post a Comment