Kyaddaki Ssenga ayogedde ekirwadde ekikambwe ekigenda okulemesa Rema obufumbo bwa Hamzah, asabye famire okumusonyiwa
Kyaddaki Ssenga w’omuyimbi Rema Namakula ayogedde ekirwadde ekigenda okulemesa muwala we obufumbo ne bba omuggya Dr. Hamzah Ssebunya.
Halima Namakula gwe bayita Ssenga wa Rema agamba nti Rema alina ekirwadde eky’omukwano era singa ayagala omuntu, amwagalira ddala.
Ssenga Halima agamba nti Rema yali ayagala nnyo Eddy Kenzo n’obulamu bwe bwonna kyokka mu myaka etaano (5), balemeddwa okukwatagana obulungi.
Mungeri y’emu agambye nti mu kiseera kino ali mu laavu ne bba omuggya Dr. Ssebunya era alina okumwagala ennyo kuba Rema, ye mukyala mwagazi nnyo ate ategeera kye bayita omukwano.
Ssenga Halima agamba nti ekigenda okulemesa Rema obufumbo, singa Dr. Ssebunya alemwa okumwagala kuba Rema akoze buli kimu okulaga Ssebunya nti ye musajja yekka ali ku mutima gwe mu kiseera kino.
Rema olunnaku olw’enkya ku Lwokuna nga 14, November, 2019 agenda kwanjula bba Dr. Hamzah Ssebunya mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka.
Ssenga agamba nti singa Ssebunya ayagala Rema, obufumbo buggya kuwangala kyokka singa yebuzabuza nga Kenzo, famire y’omulenzi erina okumusonyiwa kuba omwana we, ayinza okwesonyiwa obufumbo bwe.
The post Kyaddaki Ssenga ayogedde ekirwadde ekikambwe ekigenda okulemesa Rema obufumbo bwa Hamzah, asabye famire okumusonyiwa appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Kyaddaki Ssenga ayogedde ekirwadde ekikambwe ekigenda okulemesa Rema obufumbo bwa Hamzah, asabye famire okumusonyiwa"
Post a Comment