AMAZIGA! Omuzimu gwa Akena gulemesezza Kanyamunyu ne muganzi we Munwangari okufuna essannyu ly’omu kisenge, kkooti erangiridde ekiddako

AMAZIGA! Omuzimu gwa Akena gulemesezza Kanyamunyu ne muganzi we Munwangari okufuna essannyu ly’omu kisenge, kkooti erangiridde ekiddako

Ekitongole ekiramuzi, kirangiridde nga 11, December, 2019 okuwa ensala ku misango egivunaanibwa Mathew Kanyamunyu egy’okuttta Kenneth Akena.

Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole ekiramuzi Solomon Muyita, omulamuzi Stephen Mubiru yalondeddwa okuwulira omusango gwo.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 12, November, 2016, Kanyamunyu ne muganzi we Cynthia Munwangari benyigira mu kutta Akena bwe baamukuba esasi e Lugogo mu Kampala era bombi bali ku musango gwa butemu.

Muganda wa Kanyamunyu, Joseph Kanyamunyu ali ku misango gy’okuyambako okulemesa Mathew Kanyamunyu okuvunaanibwa.

Kanyamunyu yazaalibwa mu 1977 ku kyalo Kagururo mu disitulikiti y’e Buhweju mu kika ky’Abasira. Kitaawe ye yali James Kanyamunyu ate nnyina ye yali Jolly Kanyamunyu. Kitaawe yali musuubuzi ate nga mubuulizi wa njiri wabula olw’obuzibu obwaliwo wakati wa gavumenti ya Idi Amin n’ekkanisa, yawanganguka n’agenda mu kibuga Nairobi e Kenya n’asigala ng’abuulira enjiri wabula amagye ne gamukwata n’abuzibwawo na buli kati famire ye tezuulanga we yaziikibwa.

Kanyamunyu ne baganda be abalala bana, baasigala ne nnyaabwe Jolly Kanyamunyu ne bakkojja baabwe okuli David Kimina ne Kamanyi Ndyamba abaali abajaasi wabula mu 1979, Kimina yattibwa amagye ga Obote II ne Kamanyi n’attibwa mu 1985 amagye ge gamu nga gaduumirwa Oyite Ojok.

Jolly, yasigala n’abaana be bataano okuli Matthew Kanyamunyu, Michael Kanyamunyu kati Meeja (Major) mu ggye lya UPDF era ali ku mirimu gy’okukuuma emirembe mu Ivory Coast, Joel Kanyamunyu, Joseph Kanyamunyu eyafudde mu October ne Moses Kanyamunyu.

Mu myaka gy’e 90, ne Jolly yafa n’aleka abaana era ne bagabanibwa famire ya Boniface Byanyima, kitaawe mwe yali ava n’eya Muhinda nnyina mwe yali ava era Kanyamunyu n’atwalibwa Ssenga we Martha Byanyima n’abalala ne batwalibwa abehhanda abalala era tebaddamu kubeera wamu nga famire.

Ate Cynthia Munwangari Yazaalibwa mu 1990 mu kibuga Bujumbura ekya Burundi. Kitaawe yali Emmanuel Munwangari enzaalwa y’e Burundi ate nnyina ye yali Josephine Gahungaire Munwangari enzaalwa y’e Rwanda era ye mwana owookusatu ku baana abana.

Yasomera ku Ecole de Unite Bujumbura High School ne yeegatta ku Hope Africa University e Burundi gye yakolera diguli mu Clinical Psychology wabula n’asalawo kwegatta mu byabufuzi n’okwolesa emisono.

The post AMAZIGA! Omuzimu gwa Akena gulemesezza Kanyamunyu ne muganzi we Munwangari okufuna essannyu ly’omu kisenge, kkooti erangiridde ekiddako appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "AMAZIGA! Omuzimu gwa Akena gulemesezza Kanyamunyu ne muganzi we Munwangari okufuna essannyu ly’omu kisenge, kkooti erangiridde ekiddako"

Post a Comment