Poliisi ekutte ssemaka ku by’okubba embuzzi, bamwogezza ebyama
Poliisi y’e Rubanda ekutte Godfrey Biryabarema Kagwa myaka 35 ku by’okubba embuzzi.
Okusinzira ku batuuze, Biryabarema aludde ng’abatigomya ng’abba embuzzi zaabwe nga n’abamu ku batuuze eby’okulunda batandiise okubivaako.
Okwattibwa, abatuuze mu tawuni Kanso y’e Hamurwa batemezza ku poliisi era abasirikale n’abatuuze bazudde ekifo Biryabarema mw’abadde asalira embuzzi ezibiddwa.
Mu makaage, musangiddwamu amaliba g’embuzzi, ennyama y’embuzzi n’embuzzi gy’abadde yakasala.
Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi agamba nti Biryabarema, abatuuze baludde nga bamwemulugunyako ku by’okubba embuzzi era okwatibwa kwe, kigenda kuyamba nnyo okutebenkeza ekitundu.
0 Response to "Poliisi ekutte ssemaka ku by’okubba embuzzi, bamwogezza ebyama"
Post a Comment