OMUNAKU WAAKUFA! Uganda ezudde abalwadde ba Covid-19 423 mu lunnaku lumu, Minisita Aceng akooye okwegayirira, alangiridde ekiddako ku lwa Gavumenti

OMUNAKU WAAKUFA! Uganda ezudde abalwadde ba Covid-19 423 mu lunnaku lumu, Minisita Aceng akooye okwegayirira, alangiridde ekiddako ku lwa Gavumenti

Minisita w’ebyobulamu Dr. Ruth Aceng alabudde bannayuganda okuggya omuzannyo mu kulwanyisa obulwadde obwa Covid-19 bw’ategezezza nti bulwadde bwaddala ate butta.

Minisita Aceng awadde bannayuganda amagezi okwetangira okulwala obulwadde kubanga gavumenti essaawa yonna egenda kuta ebintu byonna ebikyali ku muggalo, abantu okuddamu okutambuza emirimu gyabwe n’okweyagala.

Minisita Acheng abadde yetabye ku mukolo ogw’okujaguza emyaka 10 egy’obulabirizi bw’e Mukono kwekutegeeza nti mu Uganda, abantu batya nnyo omuggalo okusinga obulwadde bwa Covid-19.

Agamba, abantu okwambala masiki bakikola olw’okutya Gavumenti okubaza ku muggalo wabula si kutya bulwadde, ekintu eky’obulabe.

Werutuukidde leero nga 20, September, 2020, nga Uganda erina abalwadde ba Covid-19, 6,017 oluvanyuma lw’okuzuula 423 olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga mu bitundu omuli Moroto (166), Kampala (85), Butaleja (59), Mukono (27), Lira (14),Mbale (10),Wakiso (9), Luwero (6),Buikwe (5),Kisoro (4),Gulu (3),Bududa (5),Jinja (4),Kumi (3), Kanungu (1), Kapchorwa (4),Mpigi (1), Soroti (3),Mityana (1),Sironko (1).

Uganda yakafiisa abantu 63 ate 2,581 basiibuddwa mu ddwaaliro nga bafunye obujanjabi.

Olunnaku olwaleero ku ssaawa 2 ezekiro, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni agenda kwogerako eri eggwanga.

The post OMUNAKU WAAKUFA! Uganda ezudde abalwadde ba Covid-19 423 mu lunnaku lumu, Minisita Aceng akooye okwegayirira, alangiridde ekiddako ku lwa Gavumenti appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "OMUNAKU WAAKUFA! Uganda ezudde abalwadde ba Covid-19 423 mu lunnaku lumu, Minisita Aceng akooye okwegayirira, alangiridde ekiddako ku lwa Gavumenti"

Post a Comment