OH NO! Omuliro ku yunivasite e Makerere, ekimu ku kizimbe ekikulu kiweddewo mu kiro kimu
Omuliro ogutategerekese kweguvudde gukutte ekimu ku kizimbe ekikulu ku Yunivasite y’e Makerere ekitambulizibwamu emirimu ekya Ivory Tower.
Poliisi yabazinyamwoto eyitiddwa mu bwangu okuyambako okuzikiza omuliro mu kiro ekikeesezza olwaleero.
Mu kiseera kino, tekinategeerekeka muliro guno kweguvudde wabula Poliisi etandikiddewo okunoonyereza mu bwangu.
Wabula abamu ku badduukirize bagamba nti omuliro guyinza okuba guvudde ku masanyalaze.
The post OH NO! Omuliro ku yunivasite e Makerere, ekimu ku kizimbe ekikulu kiweddewo mu kiro kimu appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "OH NO! Omuliro ku yunivasite e Makerere, ekimu ku kizimbe ekikulu kiweddewo mu kiro kimu"
Post a Comment