MUKISA OBA TALENTI! Nwagi agudde mu bintu, ye muyimbi omukyala agenda okusooka mu byafaayo bya Uganda oluvanyuma lwa Kenzo

MUKISA OBA TALENTI! Nwagi agudde mu bintu, ye muyimbi omukyala agenda okusooka mu byafaayo bya Uganda oluvanyuma lwa Kenzo

Omuyimbi Winnie Nwagi alaze nti mu Uganda, ye muyimbi omukyala alina okusooka okuwangula award ya BET olwa talenti ye.
Mu Uganda, omuyimbi eyali bba wa Rema Namakula, Eddy Kenzo ye muyimbi yekka alina Award ya BET.
Wabula Nwagi asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga nti alina obusoobozi okuwangula BET kuba mukyala yekkiririzaamu.

Ku Instgram, omu ku bawagizi be Kuuza agambye nti, “First ever female BET award winner… believe in you binji

Wadde Nwagi talina BET mu kiseera kino, Kuuza alaga nti mu Uganda ye mukyala alina okusooka abayimbi ab’enjawulo omuli Rema, Spice Diana, Julian Kanyomozi n’abalala, kiraga nti kisoboka bulungi nnyo

Tewali kubusabuusa kwonna Nwagi y’omu ku bakyala abalina talenti era asobola bulungi nnyo okuwangula BET, Kuuza okuvaayo okulaga nti Nwagi alina obusoobozi, kabonero akalaga nti bannayuganda balina laavu eri abayimbi baabwe n’okuwagira ennyimba zaabwe.

The post MUKISA OBA TALENTI! Nwagi agudde mu bintu, ye muyimbi omukyala agenda okusooka mu byafaayo bya Uganda oluvanyuma lwa Kenzo appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "MUKISA OBA TALENTI! Nwagi agudde mu bintu, ye muyimbi omukyala agenda okusooka mu byafaayo bya Uganda oluvanyuma lwa Kenzo"

Post a Comment