ESSANYU! Abayizi bakkiriziddwa okuddamu okusoma mu October, 2020, wakati mu kulwanyisa Covid-19, ‘tuwonye awaka’

ESSANYU! Abayizi bakkiriziddwa okuddamu okusoma mu October, 2020, wakati mu kulwanyisa Covid-19, ‘tuwonye awaka’

Abayizi abasoma obusawo n’ebyobulamu ku ttendekero e Makerere abali mu mwaka gwaabwe ogw’akamalirizo, bakkiriziddwa okuddamu okusoma omwezi ogugya ogwa October, 2020.

Dr. Umar Kakumba avunaanyizibwa ku by’emisomo ku ttendekero lino, abayizi abali eyo mu 500 nga basomera ku college of Health sciences bebagenda okuddamu okusoma oluvanyuma lwa Yunivasite okufuna olukusa okuva mu minisitule ye by’enjigiriza saako n’eyeby’obulamu.

Dr. Kakumba era agamba nti abayizi abasoma obusawo n’ebyobulamu baali babuzaayo sabiti 6 zokka okufundikira emisomo era singa bakomawo, buli muyizi alina okwambala Masiki, okunaaba mu ngalo ate bakoze buli kimu, abaana okwewa amabaanga nga bazzeemu okusoma.

Mungeri y’emu agambye nti Uganda yetaaga abasawo okuyamba eggwanga mu kulwanyisa endwadde ez’enjawulo wakati mu kulwanyisa Covid-19 era y’emu ku nsonga lwaki abaana abasoma obusawo bakkiriziddwa okuddamu okusoma.

Nga bakomyewo, abayizi bonna bagenda kukeberebwa, era singa bazuula omwana yenna alina Covid-19, kukeberebwa obujanjabi mu bwangu.

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni

Olunnaku olwaleero ku Ssande nga 20, September, 2020, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni agenda kwogerako eri eggwanga okwongera okulambika ku ngeri zonna ez’okulwanyisa Covid-19, ensonga y’okuggula amassomero, amasinzizo, n’ebintu ebirala.

The post ESSANYU! Abayizi bakkiriziddwa okuddamu okusoma mu October, 2020, wakati mu kulwanyisa Covid-19, ‘tuwonye awaka’ appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "ESSANYU! Abayizi bakkiriziddwa okuddamu okusoma mu October, 2020, wakati mu kulwanyisa Covid-19, ‘tuwonye awaka’"

Post a Comment