BAMBI! Desire Luzinda akungubadde Seeya Ssebagala mu ngeri ey’enjawulo, amuwereekereza obugambo 7 okuva ku ntobo y’omutima gwe

BAMBI! Desire Luzinda akungubadde Seeya Ssebagala mu ngeri ey’enjawulo, amuwereekereza obugambo 7 okuva ku ntobo y’omutima gwe

Omuyimbi Desire Luzinda y’omu ku bannayuganda abakungubagidde eyaliko meeya w’ekibuga Kampala Al Hajji Nasser Ntege Ssebagala eyafudde olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga ku myaka 72 oluvanyuma lw’omutima okwesiba.

Seeya Ssebagala yafiiridde mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo, Kampala era essaawa yonna, Famire egenda kufulumya entekateeka z’okuziika.

Al Hajji Nasser Ntege Ssebagala
Al Hajji Nasser Ntege Ssebagala

Kati no, Desire asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okungubagira omugenzi era agambye nti wadde afudde, wakujjukirwa nnyo mu byafaayo, kwe kusaba Omutonzi amuwumuze mirembe, “You will forever be remembered …RIP Seya“.

Desire abadde mukwano gwa mugenzi era y’emu ku nsonga lwaki y’omu ku bakyala abayimbi abavuddeyo okungubaga.

The post BAMBI! Desire Luzinda akungubadde Seeya Ssebagala mu ngeri ey’enjawulo, amuwereekereza obugambo 7 okuva ku ntobo y’omutima gwe appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "BAMBI! Desire Luzinda akungubadde Seeya Ssebagala mu ngeri ey’enjawulo, amuwereekereza obugambo 7 okuva ku ntobo y’omutima gwe"

Post a Comment