VIDIYO! Jazmine alaze Fik omukwano mu lwatu, amukirizza okugikwato n’okugiweweeta okulumya abayaaye abagyepikira
Omuyimbi Lydia Jazmine buli lunnaku akola ebintu eby’enjawulo okulaga eggwanga nti ddala alina ekintu eky’enjawulo ne muyimbi munne Fik Fameica.
Waliwo Bannayuganda abagamba nti Jazmine ali mu laavu ne Fik wadde tewali muntu yenna lina bukakafu ku mukwano gwabwe.
Wadde ebigambo byogerwa, Jazmine akola ebintu eby’enjawulo ebirowoozesa abantu nti tewali kubusabuusa kwonna ali mu laavu ne Fik omuli okwekubya ebifaananyi bombi, Jazmine okulabikira mu vidiyo y’omuyimbi Fik mu luyimba lw’omukwano olwa Muko n’ebintu ebirala.
Mu luyimba, Muko, Fik agamba nti “Nze maliridde leero nsazeewo, Bakumpe nkutwale mu butongole, Obulungi bw’oliko sijja kulwawo, Omuko enkoko ne bw’antuma enkongole‘, era agamba nti, ‘Nafuna gwe babe nafuna, Girl, I promise I’ll never make you cry, Walaayi Forever and ever you and I, Muko, muko, muko njagala mwannyoko Mwannyoko, Muko, muko, muko nsaba ompe mwannyoko‘, era waliwo ebigambibwa nti yali asindikira Jazmine sigino.
Olunnaku olwaleero, tukuletedde vidiyo nga Jazmine ali ne Fik mu kifo ekimu ekisanyukirwamu era mu ngeri y’okweraga amapenzi mu lwatu, Jazmine yawadde Fik omukisa empale ye ey’omunda okugikwato n’okugiweweeta mu ngeri y’okulumya abayaaye.
Vidiyo
The post VIDIYO! Jazmine alaze Fik omukwano mu lwatu, amukirizza okugikwato n’okugiweweeta okulumya abayaaye abagyepikira appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "VIDIYO! Jazmine alaze Fik omukwano mu lwatu, amukirizza okugikwato n’okugiweweeta okulumya abayaaye abagyepikira"
Post a Comment