BIZUUSE! Kitatta ayogedde amazima lwaki yasibwa n’omukuumi we, aba famire bakulukuse amaziga nga bategedde amazima

BIZUUSE! Kitatta ayogedde amazima lwaki yasibwa n’omukuumi we, aba famire bakulukuse amaziga nga bategedde amazima

Hajji Abdallah Kitatta yeekokkodde abantu beyakolanga nabo bagambye nt beebamuviirako okusibwa mu kkomera oluvanyuma lw’okuwa ab’ebyokwerinda amawulire amakyamu.

Kitatta bw’abadde awayamu ne bannamawulire yetondedde eggwanga lyonna saako n’abantu bonna beyasobya.

Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 yayimbuddwa okuva mu kkomera e Luzira gy’amaze emyaka 3 ku misango gy’okusangibwa n’emmundu ssaako n’ebintu by’amaggye mu ngeri emenya amateeka.

Ku lunnaku Olwokutaano ku makya nga 7, August, 2020, omulamuzi Elly Turyamubona owa kkooti y’amaggye ejulirwamu yakenderezza ku Kitatta n’omukuumi we Ngoobi Sowali ekibonerezo ekyali kyabaweeebwa eky’emyaka 10.

Omulamuzi Turyamubona yabawadde emyaka esatu n’atoolako emyaka gy’amaze mu kkomera oluva lwe yasalirwa omusango olwo n’amusiba omwaka gumu n’emyezi 8 n’ennaku 6.

Frank Baine, omwogezi w’ekitongole ky’amakkomera agamba nti bwe babaze ebbanga kkooti lye yawadde Kitatta n’omukuumi we Ngobi, babeera balina kuyimbulwa nga 11, July, 2020 olwo ne bamuyimbula mbagirawo.

Wabula Kitatta agamba nti ayinza okuba waliwo abantu beyakosa, asabye okumusonyiwa, bakwatagana mu kutambuza eggwanga.

The post BIZUUSE! Kitatta ayogedde amazima lwaki yasibwa n’omukuumi we, aba famire bakulukuse amaziga nga bategedde amazima appeared first on Galaxy FM 100.2.

0 Response to "BIZUUSE! Kitatta ayogedde amazima lwaki yasibwa n’omukuumi we, aba famire bakulukuse amaziga nga bategedde amazima"

Post a Comment