KIWEDDE! Katikkiro Mayiga abotodde ebyama, ayogedde ensonga 5 Obuganda kwe bugenda okusiinzira okuwagira Bobi Wine oba Museveni ku bwa Pulezidenti mu 2021

KIWEDDE! Katikkiro Mayiga abotodde ebyama, ayogedde ensonga 5 Obuganda kwe bugenda okusiinzira okuwagira Bobi Wine oba Museveni ku bwa Pulezidenti mu 2021

Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga alaze ensonga 5 Obuganda kwe bugenda okusinziira okuwagira omuntu yenna ku bwa Pulezidenti bwa Uganda.

Kamalabyonna Mayiga bw’abadde ayogerako n’abantu aba Kabaka abawangaalira emitala w’amayanja ku nkola eya zoom agambye nti obwa Kabaka ssibwakugwa mu butego bwa bannanyabfuzi mu kulonda okusuubirwa okubaayo mu 2021.

Katikkiro Charles Peter Mayiga
Katikkiro Charles Peter Mayiga

Katikkiro agamba nti, “Ffe nga Mengo tetuyinza kuvaayo netugamba nti tuwagira ggundi ekyo nedda tekisoboka nakatono. Eby’obufuzi bivaawo naye Buganda esigalawo kubanga Buganda lwazi. Twagala ayagala obuwagizi bwa Buganda yaba ayogera wayimiridde ku nsonga za Buganda Ssemasonga ettaano olwo abantu bo basalewo asaanidde”.

Agamba omuntu yenna ayagala obwa Pulezidenti bwa Uganda omuli Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni n’abalala, balina okuvaayo okulaga Obuganda webayimiridde ku nsonga zaabwe.

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni

Ensonga Ssemasonga ettaano eza Buganda kuliko

1 – Okunyweza n’okukuuma Nnamulondo. Ssaabasajja Kabaka wa Buganda y’entabiro y’ebyobuwangwa, ennono n’enfuga eby’Obwakabaka bwa Buganda. N’olwekyo, ekifo kya Kabaka kisaanidde okukuumwa butiribiri n’okuweebwa ekitiibwa ebbanga lyonna.

2 – Okugabana Obuyinza ne Gaavumenti eya Wakati mu Nkola eya “Federal”. Obwakabaka bwa Buganda buwagira enfuga eya federal eri ebitundu byonna ebijagala. Tulina ensonga nnyingi lwaki tuwagira enfuga eno. Ensonga zino ziviira ddala abafuzi b’amatwaale Abangereza lwe batuuka mu Uganda n’okukola Endagaano ey’Olwenda (Uganda Agreement, 1900). Ebiruubirirwa bya Buganda binywezebwa Article 1 eya Ssemateeka wa Uganda, 1995 egamba nti: obuyinza bwonna buli mu bantu era abantu banakulemberwanga okusinziira ku biruubirirwa byabwe n’okusalawo kwabwe.

3 – Okununula Ettaka n’Ensalo za Buganda yonna gye ziyita. Ebbanga ggwanvu nnyo ng’Obwakabaka bwa Buganda bulwanirira okuzza Ebyaffe omuli—ettaka, eby’obugagga n’ebizimbe ebyanyagibwa Gaavumenti ya Uganda mu 1966. Mu 2013 Kabaka yakola Endagaano ne Government ya Uganda okuzza n’okuliyirira ebimu ku Byaffe ebyanyagibwa. Okutuukiriza Endagaano eyo kubadde kwa kasoobo n’okwelumaluma.

N’olw’ekyo, Obwakabaka bwagala:

(a) Okukuuma ensalo z’Obwakabaka yonna gye ziyita (Amasazza ga Buganda 18 gonna) era n’okukasa nti teziseeseetuka. Awo nno, Obwakabaka bwa Buganda buwakanya olukujjukujju lwonna olugenderera okukutula Bugerere, Buruli ne Kooki ku Bwakabaka bwa Buganda wansi w’obukulembeze bwa Ssabanyala, Ssabaruli ne Kamuswaga.

(b) Okubanja Gaavumenti ya Uganda okutuukiriza Endagaano y’Ebyaffe, 2013 omuli n’okusasula ensimbi n’okuliyirira okujjuvu.

(c) Enoongosereza mu eteeka ly’ettaka (Land Act, 2010) naddala obuwaayiro ku nkologana wakati w’ab’ebibanja ne banannyini ttaka; ate obusuulu bube nga bugerekeddwa okusinziira ku kifo, obugazi bw’ettaka n’ebikolebwako omupangisa.

(d) Enoongosereza ku kifo (status) kya Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era n’okulambulula ensalo zaakyo. Walina okubaawo enjawulo wakati w’ekibuga ekikulu (capital) n’ekitundu eky’eby’obusuubuzi (business district). Era, waliwo obwetaavu obw’okuzaawo ekibuga ky’e Mengo (Mengo Municipality) wansi w’obukulembeze bw’Obwakabaka.

(e) Okuteereza n’okuluŋŋamya obwanannyini bw’ettaka n’obusenze obw’enjawulo ku ttaka eriddiziddwa Obwakabaka.

(f) Okusaba ensimbi n’obuyambi obutali bumu okusobozesa okukola enteekateeka ez’okuddukanya n’okulabirira ettaka lyaffe, ebizimbe n’obuggagga obulala.

(g) Okuzaawo, okuddabiriza n’okukuuma omutindo gw’ebifo byaffe eby’obuwangwa n’ebyo byonna ebitudiziddwa.

(h) Okukubiriza abantu baffe okuwa ebintu byaffe byonna ekitiibwa era n’okubikuuma obutiribiri.

4 – Okukola ennyo n’Okwekulaakulanya. Obwakabaka bwa Buganda buluubirira Okubbulula abantu baabwo okuva mu bwaavu n’embeera embi ey’obulamu bwaabwe, Okusomesa abantu baabwo n’okubayigiriza emirimu egy’emikono, Okukubiriza abavubuka baabwo okwewala emize ng’obugayaavu, Okukubiriza abantu baabwo okuwagira enteeteeka ne puloojekiti zonnna ezigendereddwamu okubakulaakulanya okutumbula n’okukyuusa obulamu bwaabwe.

5 – Obumu.  Kabaka bulijjo mu bubaka bwe atukubiriza okwegatta ng’Abaganda ku buli nsonga yonna ng’agamba nti, “Tusaanidde okunyweza obumu mu Bika n’amawanga agatali gamu mu Buganda. Obukulembeze bw’Obwakabaka bujja kwongera okuwa ekitiibwa n’okuweereza abantu bonna awatali kwawulayawula okusinziira ku ddiini, endowooza ez’oby’obufuzi, ekikula oba ebirowoozo byabwe n’ebirala.”.

Katikkiro Mayiga agamba nti Obuganda bwetegese okuwagira omuntu yenna anavaayo ku nsonga Ssemasonga ettaano ezikwata ku Buganda.

The post KIWEDDE! Katikkiro Mayiga abotodde ebyama, ayogedde ensonga 5 Obuganda kwe bugenda okusiinzira okuwagira Bobi Wine oba Museveni ku bwa Pulezidenti mu 2021 appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "KIWEDDE! Katikkiro Mayiga abotodde ebyama, ayogedde ensonga 5 Obuganda kwe bugenda okusiinzira okuwagira Bobi Wine oba Museveni ku bwa Pulezidenti mu 2021"

Post a Comment