VIDIYO! Nwagi akubye Dansi n’omutima gw’ebbeere, alikutte omukono obutabuuka mu kaleega mu maaso ga Kkamera

VIDIYO! Nwagi akubye Dansi n’omutima gw’ebbeere, alikutte omukono obutabuuka mu kaleega mu maaso ga Kkamera

Omuyimbi Winnie Nwagi alaze nti ddala Katonda yamuwa ekitone, era y’emu ku nsonga lwaki y’omu ku bakyala abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba mu ggwanga lino Uganda.

Nwagi ennaku zino alina oluyimba olukutte akati mu ggwanga ne Freeboy ‘Kwata Essimu’ era luyambye nnyo abantu okwejjako ebirowoozo mu kiseera kino eky’okulwanyisa Kolona.

Mu ngeri y’okusanyusa abawagizi be, Nwagi asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okuteekayo vidiyo ng’ali ku luyimba Kwata Essimu kyokka ku mulundi guno, akubye dansi n’omutima gw’ebbeere, alikutte omukono obutabuuka mu kaleega mu maaso ga Kkamera, ekiwadde abantu enseko.

Vidiyo

View this post on Instagram

🥀

A post shared by WINNIE NWAGI (@winnienwagi) on

The post VIDIYO! Nwagi akubye Dansi n’omutima gw’ebbeere, alikutte omukono obutabuuka mu kaleega mu maaso ga Kkamera appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "VIDIYO! Nwagi akubye Dansi n’omutima gw’ebbeere, alikutte omukono obutabuuka mu kaleega mu maaso ga Kkamera"

Post a Comment