MWEDDEKO! Juliana Kanyomozi akangudde ku ddoboozi ku mbeera eri mu ggwanga, atabukidde bannayuganda ab’emputtu
Omuyimbi Juliana Kanyomozi akangudde ku ddoboozi ku bannayuganda abasukkiridde obulagajjavu ku nsonga y’okulwanyisa Coronavirus mu ggwanga.
Webukeeredde enkya ya leero nga Uganda erina abalwadde 763 aba Covid-19 oluvanyuma lw’okuzuula abantu 8 nga balina Kolona olunnaku olw’eggulo.
Omwezi oguwedde Ogwokutaano, omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yayisa ekiragiro buli muntu yenna okwambala Masiki ng’ali mu lujjudde lw’abantu ng’emu ku ngeri y’okutangira Kolona okusasaana.
Newankubadde ekiragiro kyayisibwa, bangi ku bannayuganda eby’okwambala Masiki babivaako ekiyinza okuwa omukisa Kolona okusasaana.
Ku nsonga y’abantu okwambala masiki, Juliana naye avuddeyo era agambye nti abantu abambala masiki ne baleka ennyindo ebweru n’okuziteeka wansi ku kalevu, batawanira ki?, “People who wear masks and leave the nose out, or leave it under your chin!! Why do you even bother in the first place?“.
The post MWEDDEKO! Juliana Kanyomozi akangudde ku ddoboozi ku mbeera eri mu ggwanga, atabukidde bannayuganda ab’emputtu appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "MWEDDEKO! Juliana Kanyomozi akangudde ku ddoboozi ku mbeera eri mu ggwanga, atabukidde bannayuganda ab’emputtu"
Post a Comment