OMG! Omusuubuzi omugundivu attiddwa mu ntiisa, akubiddwa amasasi, Poliisi erangiridde ekiddako

OMG! Omusuubuzi omugundivu attiddwa mu ntiisa, akubiddwa amasasi, Poliisi erangiridde ekiddako

Poliisi mu disitulikiti y’e Kapchorwa eri mu kunoonya abatemu abasse omusuubuzi Felix Cheptoek myaka 34.

Cheptoek yakubiddwa amasasi ku Lwokutaano ekiro ku ssaawa 3 ku kyalo Chenwach mu ggombolola y’e Teryet bwe yabadde adda awaka mu tawuni y’e Kapchorwa.

Fredmark Chesang, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Sipi agambye nti Poliisi eri mu kunoonya abatemu okuzuula lwaki baatemudde Cheptoek.

Omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro lye Kapchorwa okwekebejjebwa.

Poliisi esabye abatuuze abalina amawulire ku batemu, okukolagana mu kiseera kino okubakwata.

Moses chelangat, ssentebbe w’ekyalo Chenwach agambye nti abatuuze baawulira amasasi era baali balowooza nti Poliisi eri mu kuteeka mu nkola essaawa za Kafyu.

The post OMG! Omusuubuzi omugundivu attiddwa mu ntiisa, akubiddwa amasasi, Poliisi erangiridde ekiddako appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "OMG! Omusuubuzi omugundivu attiddwa mu ntiisa, akubiddwa amasasi, Poliisi erangiridde ekiddako"

Post a Comment