BAMBI! Ssemaka abadde asobya ku mwana wa muganda we myaka 8 akwattiddwa, amuyuzizza ebitundu by’ekyama
Poliisi y’e Kabale ekutte omusajja myaka 27 ku misango gy’okusobya ku mwana wa muganda we myaka 8.
Kigambibwa Denis Mudushi ng’avuga bodaboda ku Kekubo siteegi ku kyalo Rutenga cell mu Monisipaali y’e Kabale, nga 11, May, 2020 ku ssaawa 12 ez’akawungeezi, yasendasenda omwana namutwala mu nnyumba era bwatyo namusobyako.
Oluvanyuma, Mudushi yatiisatiisa omwana okumutta singa ategezaako nnyina oba omuntu yenna.
Ku Lwokuna nga 14, May, 2020, muganda w’omwana omukulu yekeengedde olw’engeri muto we gye yabadde atambulamu era okumwekebejja ng’atandiise okuvunda ebitundu by’ekyama.
Omwana yalambuludde engeri Mudushi gye yamusobyako.
Olunnaku olw’eggulo, Mudushi yakwattiddwa Poliisi nga yeegatiddwako Dayirekita wa Uganda women empowerment, Madame Beena.
Mu kiseera kino ali ku kitebe kya Poliisi e Kabale era yagguddwaako omusango gw’okujjula ebitanajja.
The post BAMBI! Ssemaka abadde asobya ku mwana wa muganda we myaka 8 akwattiddwa, amuyuzizza ebitundu by’ekyama appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "BAMBI! Ssemaka abadde asobya ku mwana wa muganda we myaka 8 akwattiddwa, amuyuzizza ebitundu by’ekyama"
Post a Comment