AWEDDE! Ssemaka eyasse mukyala we n’abaana emirambo nagipakira mu buddeeya akwattiddwa, omuzimu gumwogeza ebyama
Owa bodaboda eyesse mukyala we ssaako n’abaana babiri (2) e Banda, Kyambogo mu Kampala kyaddaki Poliisi emukutte.
Okusinzira ku Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Yasin Mbago bamukwatidde mu disitulikiti y’e Luuka era mu kiseera kino ali ku kitebe kya Poliisi e Luuka gye bagenda okumuggya okumutwala ku Poliisi ya Jinja Road ku misango gy’obutemu.
Mbago ng’avugira bodaboda mu katale k’abalimi e Kireka ali ku misango gy’okutta mukyala we Carol Nambozo, 30 n’abaana be okuli Musa myaka 4 ne Shaban myaka 7 ekiro ekyakesezza ku Lwokutaano.
Poliisi egamba nti Mbago yasooka kutta mukyala we Nambozo oluvanyuma kwe kutta abaana, emirambo nagipakira mu buddeeya busatu (3) nabulawo.
Owoyesigyire agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza lwaki Mbago yasse mukyala we n’abaana.
The post AWEDDE! Ssemaka eyasse mukyala we n’abaana emirambo nagipakira mu buddeeya akwattiddwa, omuzimu gumwogeza ebyama appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "AWEDDE! Ssemaka eyasse mukyala we n’abaana emirambo nagipakira mu buddeeya akwattiddwa, omuzimu gumwogeza ebyama"
Post a Comment